1 Corinthians 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno embaga tuleme kugirya n'ekizimbulukusa ekikadde, ekizimbulukusa eky'ettima n'obugwenyufu, naye tugirye n'omugaati ogutazimbulukuse mu bwesimbu n'amazima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tulye embaga si na kizimbulukusa eky’edda, newaakubadde ekizimbulukusa eky’ettima n’ekibi, naye tugirye n’omugaati ogutaliimu kizimbulukusa nga gulimu obulongoofu n’amazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tufumbe embaga, eteriimu kizimbulukusa eky'edda, eky'ettima n'obubi, wabula tulye omugaati ogutalimu kizimbulukusa, ogwo bwesimbu n'amazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tulye embaga eteri ya mugaati ogulimu ekizimbulukusa eky'edda, eky'ettima n'obubi, naye ey'omugaati ogutaliimu kizimbulukusa: bwe bulongoofu, obwesimbu, n'amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale tufumbe embaga, si na kizimbulukusa eky'edda, newakubadde n'ekizimbulukusa eky'ettima n'obubi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima.