1 Corinthians 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu mu mmwe ng'aliko ky'avunaana omulala, aguma atya okuwoleza mu maaso g'abatali batuukirivu mu kifo ky'okuwoleza mu batuukirivu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna mu mmwe bw’aba n’ensonga ne munne, agitwala eri abatali batuukirivu oba eri abatukuvu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna mu mmwe bw'aba n'ensonga ku munne, ayaŋŋaanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu mu mmwe bw'abaako ky'avunaana munne, lwaki aguma okutwala ensonga ze mu balamuzi abatalina kukkiriza, n'atazitwala mu bantu ba Katonda?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna ku mmwe bw'aba n'ekigambo ku munne, ayaŋŋanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu?