1 Corinthians 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu edda bwe mwali, naye kati mwanaazibwa, mwatukuzibwa, sso mwafuuka batuukirivu mu linnya ly'Omukama Yezu Kristu ne mu Mwoyo wa Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo n’Omwoyo wa Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abamu ku mmwe mwali ng'abo, era mwanaazibwa, era mwatukuzibwa, era mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abamu ku mmwe mwali ng'abo. Naye olw'erinnya lya Mukama Yesu Kristo n'olwa Mwoyo wa Katonda, mwanaazibwa era mwatukuzibwa, ne muweebwa obutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abamu ku mnwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe.