1 Corinthians 6:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Byonna nzikirizibwa okubikola,” naye si byonna nti bingasa. “Byonna nzikirizibwa okubikola,” naye sigenda kufugibwa kintu na kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ebintu byonna birungi gye ndi,” naye byonna tebingasa. “Byonna birungi gye ndi,” naye nze sigenda kufugibwanga kintu kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ayinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Weewaawo, naye si byonna ebigasa. Nange nnyinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Naye nga byo si bye binfuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna.