1 Corinthians 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Emmere yakolerwa lubuto, n'olubuto lwakolerwa mmere;” naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri teguliiwo lwa buseegu, wabula lwa Mukama, n'Omukama lwa mubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyokulya bya lubuto, n’olubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya,” naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'omulala ayinza okugamba nti: “Ebyokulya byatonderwa lubuto, n'olubuto lwatonderwa byakulya.” Weewaawo, naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri teguliiwo lwa bwenzi, wabula guliwo lwa Mukama, ne Mukama lwa mubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya: naye Katonda alibiggyawo byombiriri. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri: