1 Corinthians 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temumanyi nti ayeegatta ne malaaya afuuka mubiri gumu naye? Anti yagamba nti: “Babiri balifuuka omubiri gumu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, “Bombi balifuuka omubiri gumu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? Kubanga ayogera nti, “Bombi banaafuuka omubiri gumu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temumanyi nti eyeegatta n'omwenzi, bombi baba omubiri gumu? Kubanga kyawandiikibwa nti: “Bombi baliba omubiri gumu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? kubanga ayogera nti Bombiriri banaabeeraaga omubiri gumu.