1 Corinthians 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga mulina ensonga ng'ezo, lwaki muzitwala eri abo Ekleziya b'enyooma?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale bwe muba n’ensonga lwaki muzitwala mu abo abanyoomebwa ekkanisa ne mubalonda okuba abalamuzi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, lwaki mugitwala eri abo abanyoomebwa mu kkanisa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe muba n'emisango egy'engeri eyo, lwaki mugitwala eri abo ab'ebweru, abanyoomebwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, abanyoomebwa mu kkanisa abo be muteekawo?