1 Corinthians 6:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino nkyogera kubakwasa nsonyi; ddala ddala mu mmwe temuli n'omu asobola kumala nsonga za ba luganda mu mmwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Njagala kubakwasa nsonyi; ddala mu mmwe temuli muntu n’omu alina magezi asobola okusala ensonga wakati w’abooluganda?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Njogera kino kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino nkyogedde kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuulamu muntu mugezi asobola okusala omusango gw'abooluganda?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Njogedde kubakwasa nsonyi. Kiri bwe kityo nti mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga,