1 Corinthians 6:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate mmwe okuwozaŋŋanya mwekka na mwekka nakyo kitegeeza bwe muwanguddwa. Lwaki temugumiikiriza nsobi? Lwaki temusiima waakiri ne mulyakulwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye n'okuwozaŋŋanya mwekka na mwekka, kiraga nti muli mu kabi. Lwaki temugumiikiriza nga mukoleddwa akabi? Lwaki temugumira bya kulyazaamanyizibwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?