1 Corinthians 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'anobanga, asigaliranga awo, oba addangayo n'atabagana ne bba. N'omusajja tayawukananga ne mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; n’omusajja tagobanga mukazi we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye singa anoba, abeereraawo obutafumbirwa, oba si bwe kityo atabaganenga ne bba; n'omusajja tagobanga mukazi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa anoba, taafumbirwenga nate. Ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo, addiŋŋane ne bba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(naye okunoba bw'anobanga, abeerenga awo obutafumbirwanga, oba atabaganenga ne musajja we); era n'omusajja obutalekangayo mukazi we.