1 Corinthians 7:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bye ŋŋamba abalala nze mbyogera, si Mukama, nti obanga owooluganda alina omukazi atannakkiriza, omukazi ng'asiima basigale wamu, aleme kumugoba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalala njogera gye bali kubanga si tteeka eriva eri Mukama waffe, naye mbagamba nti owooluganda bw’abeera n’omukazi atali mukkiriza ng’ayagala okubeera naye, tamugobanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abalala mbagamba nze, si Mukama waffe, ow'oluganda yenna bw'abanga n'omukazi atakkiriza, omukazi nakkiriza okubeera naye, tamugobanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalala bo mbagamba, nze sso si Mukama, nti owooluganda bw'abanga n'omukazi atali mukkiriza, ng'ayagala okubeera naye, tamugobanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abalala mbagamba nze, si Mukama waffe: w'oluganda yenna bw'abanga n'onukazi atakkiriza, omukazi bw'atabagananga naye okubeera naye, tamulekangayo.