1 Corinthians 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omusajja atannakkiriza atukuzibwa olw'omukazi; n'omukazi atannakkiriza atukuzibwa olw'omusajja. Singa si bwe kityo bwe kiri, abaana bandibadde si batukuvu; sso mu mazima batukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omusajja atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa mukyala we omukkiriza, oba omukyala atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa bba omukkiriza. Kubanga bwe kitaba ekyo abaana bammwe banditwaliddwa ng’abatali balongoofu naye ku lw’ekyo abaana bammwe baba balongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi we, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na bba, singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga omusajja atali mukkiriza, atukuzibwa olw'okwegatta ne mukazi we, era n'omukazi atali mukkiriza atukuzibwa olw'okwegatta ne bba omukkiriza. Singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu, naye kaakano batukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na wa luganda: singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.