1 Corinthians 7:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atannakkiriza bw'ayagala okwawukana, agende. Bwe biba bwe bityo, owooluganda oba mwannyinaffe aba takyalina kiziyizo. Anti Katonda yatuyitira ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka oyo atali mukkiriza bw’ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera n’eddembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye atakkiriza bw'ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo, kubanga Katonda yatuyitira mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka oyo atali mukkiriza bw'ayagala okwawukana, baawukane. Muganda waffe oba mwannyinaffe tewali kimusiba mu ekyo, kubanga Katonda yatuyitira mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye atakkiriza bw'ayawukananga, ayawukane: ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo: naye Katonda yatuyitira mirembe.