1 Corinthians 7:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu ayise ng'Omukama bwe yamuteebeza, era mu mbeera gye yalimu Katonda lwe yamuyita. Kino kye ndagira mu Ekleziya zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu abeere mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda mwe yamuyitira mw’abatambuliranga. Ekyo ky’ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe yamugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga bw'atyo. Ekyo ky'ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli omu abe mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda bwe yamuyitira. Ekyo kye kiragiro kye mpa mu bibiina byonna eby'abakkiriza Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe yamugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga bw'atyo. Era bwe ndagira bwe ntyo mu kkanisa zonna.