1 Corinthians 7:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga oyo Omukama gwe yayita nga muddu, kaakano mununule wa Mukama; kye kimu n'oli eyayitibwa nga si muddu, kaakano muddu wa Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, n’oyo eyali ow’eddembe yafuuka muddu wa Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu Mukama waffe eyayitibwanga muddu, aweebwa Mukama waffe eddembe, bw'atyo eyayitibwanga wa ddembe afuuka muddu wa Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula muntu we wa ddembe. N'oyo Mukama gwe yayita nga wa ddembe, muddu mu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu Mukama waffe eyayitibwa nga muddu, aweebwa Mukama waffe eddembe: bw'atyo eyayitibwa nga wa ddembe ye muddu wa Kristo.