1 Corinthians 7:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, buli omu anywerere mu mbeera mwe yayitirwa, mw'aba asigala ne Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna ky’alimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'oluganda, buli muntu abeerenga mu mbeera gye yalimu, agibeeremu wamu ne Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, buli omu abeerenga mu mbeera gye yalimu, Katonda bwe yamuyita.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'oluganda, okuyitibwa buli muntu kwe yayitirwamu, abeerenga mu okwo wamu ne Katanda.