1 Corinthians 7:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama taliiko kye yandagira ku batannafumbirwa, naye mpa endowooza yange nga nze olw'ekisa ky'Omukama eyaweebwa okuba omwesigwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ku ky’abatafumbirwanga wadde okuwasa, sirina kiragiro kiva eri Mukama wabula Mukama mu kusaasira kwe yampa amagezi agayinza okwesigibwa kwe nnaasinziira okubawa ekirowoozo kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku bikwata ku butafumbiriganwa, sirina kiragiro kya Mukama waffe, naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebikwata ku batali bafumbo, sirina kiragiro kiva eri Mukama, naye mbawa ekirowoozo kyange ng'omuntu eyasaasirwa Mukama, ne nfuuka omwesigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku by'obutafumbiriganwa sirina kiragiro kya Mukama waffe: naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa.