1 Corinthians 7:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wagattibwa n'omukazi? Tonoonya kusumululwa. Tonnawasa? Tonoonya wa kuwasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga oli mufumbo tosaanye kwawukana na munno. Naye obanga wayawukana n’omukazi, tonoonya wa kuwasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wasibibwa n'omukazi? Tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? Tonoonyanga mukazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'oba n'omukazi leka kugezaako kumweggyako. Bw'oba toli mufumbo, leka kugezaako kunoonya mukazi wa kuwasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wasibibwa n'omukazi? tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? tonoonyanga mukazi.