1 Corinthians 7:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'oba owasizza, oba tokoze kibi; n'omuwala bw'afumbirwa, aba takoze kibi. Naye abo ennaku ez'omubiri zijja kubasanga; nandyagadde okuzibawonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka omusajja bw’awasa aba tayonoonye, era n’embeerera bw’afumbirwa naye aba tayonoonye. Wabula abafumbo, obufumbo bujja kubaleetera emitawaana gye nandiyagadde mwewale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'emitawaana gy'ensi gye nnandyagadde mwewale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'owasa oba tokoze kibi. Era n'omukazi atali mufumbo bw'afumbirwa, aba takoze kibi. Wabula abo abafumbirwa banaabeeranga n'emitawaana egy'obufumbo. Naye mmwe nandyagadde okugibawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'okubonaabona mu mubiri: nange mbasaasira.