1 Corinthians 7:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakolagana n'ensi babe ng'abatakolagana nayo; kubanga enfaanana y'ensi eno eggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’abo abakozesa eby’oku nsi kuno bireme okubamalamu ennyo, kubanga ensi eya kaakano eggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abo abakozesa eby'omu nsi babe ng'abatabikozesa, kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'abo abakozesa eby'oku nsi kuno, babe ng'abatabikozesa, kubanga ensi eno nga bw'eri, eggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abo abakoza eby'omu nsi babe ng'abatabikoza bubi: kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo.