1 Corinthians 7:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Njagala muleme kweraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama; asala ga kusanyusa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Njagala mulemenga kweraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku mulimu gwa Mukama, era Mukama gw'ayagala okusanyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe: