1 Corinthians 7:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oyo aba agabanyiziddwamu wabiri. Omukazi oba omuwala atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama, asala ga kubeera mutukuvu mu mubiri ne mu mwoyo; naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya nsi; asala ga kusanyusa bba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo; naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga bba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aba yeesazeemu, alowooza wabiri. Era omukazi atali mufumbo oba omuwala, yeemalira ku bya Mukama, ayagala abe mutukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo, yeeraliikirira bya nsi, nga bw'anaasanyusanga bba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga musajja we.