1 Corinthians 7:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa oli awulira nga tayisa bulungi mwogerezebwa we, ng'asikirizibwa gy'ali, era ng'alina kukikola, oyo akole nga bw'ayagala; bafumbiriganwe, tewali kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bw’alowooza nti aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gw’ayogereza bw’atamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omusajja bw'alowoozanga nti taakole bulungi obutawasa omuwala gw'ayogereza, ate nga tayinza kweziyiza, akolenga nga bw'ayagala, bafumbiriganwe, aba tayonoonye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omusajja bw'alowoozanga nti tayisizza bulungi omuwala gw'abeera naye bw'atamuwasa, ate nga tayinza kwefuga, akole nga bw'ayagala; bafumbiriganwe, ekyo si kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu bw'alowoozanga nga takola bulungi muwala we, oba nga ayitiridde obukulu, era oba nga kigwana okubeera bwe kityo, akolenga nga bw'ayagala; tayonoona; bafumbiriganwe.