1 Corinthians 7:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'oli ateesa mu mutima gwe n'amalirira, nga tewali amuwalirizza, nga yeeteesezza bulungi, n'asalawo mu mutima gwe okumukuuma ng'omwogerezebwa we, akola bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oyo asobola okwefuga ng’alina omutima omunywevu, n’asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oyo alina omutima omunywevu, n'asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa aba asazeewo bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oyo omunywevu mu mutima gwe, era nga talina kimuwaliriza, naye nga yeefuga, n'amalirira obutawasa muwala oyo, wabula okumukuuma nga mwannyina, aba akoze bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyo anywera mu mutima gwe, nga tawalirizibwa, naye ng'ayinza okutuukiriza bw'ayagala ye, era nga yamalirira kino mu mutima gwe okukuumanga muwala we, alikola bulungi.