1 Corinthians 7:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi asibiddwa ku bba ebbanga lyonna nga bba akyali mulamu; naye bba bw'amala okufa, wa ddembe okufumbirwa yenna gw'ayagala, naye mu Mukama mwokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bw’aba akyali mulamu. Naye bba bw’afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw’ayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi omufumbo asibibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw'ayagala, kyokka mu Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi omufumbo taba na ddembe okufumbirwa omusajja omulala nga bba akyali mulamu. Kyokka bba bw'afa, olwo aba wa ddembe okufumbirwa omusajja omulala gw'aba ayagadde, wabula ng'agoberera Mukama ky'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi asibibwa musajja we ng'akyali mulamu; naye musajja we bw'aba nga yeebase, nga wa busa afumbirwenga gw'ayagala; kyokka mu Mukama waffe.