1 Corinthians 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omukazi omubiri gwe tagulinaako bwannannyini, wabula bba; n'omusajja omubiri gwe tagulinaako bwannannyini, wabula mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula bba, era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula bba ye agulinako obuyinza. Bw'atyo n'omusajja si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula mukazi we ye agulinako obuyinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we: era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we.