1 Corinthians 7:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nga bwe ndaba, yandyesiimye okusinga singa asigalira awo; nange ndowooza nnina Mwoyo wa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali, nga nze bwe ndowooza, era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'asigala nga bw'ali, lw'asinga okuba n'essanyu. Ekyo kye kirowoozo kyange, era ndowooza nti nange nnina Mwoyo wa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali nga nze bwe ndowooza: era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda.