1 Corinthians 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu aleme kugaana munne; wabula mpozzi nga mumaze kukkaanya mumale ebbanga, mufune akadde akeegayirira; ate muddiŋŋane, Sitaani aleme kubakema olw'okulemererwa okwefuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga ery’okusabiramu n’oluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olw’obuteefuga bwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli omu alemenga okumma munne, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafumbo, buli omu alemenga kugaana munne, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubenga n'ebbanga ery'okwegayiririramu Katonda. Naye oluvannyuma muddiŋŋanenga, sikulwa nga Sitaani abakema olw'obuteefuga bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temumaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe.