1 Corinthians 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ate ku bifa ku mmere empongere balubaale: tumanyi nti ffenna tumanyi; naye nno okumanya kuleeta lwetumbu; wabula okwagala kwo kuzimba omuntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ku nsonga ey’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala: tumanyi nti byonna tubitegeera. Naye okwerowooza nti tumanyi kuleeta okwekuluntaza naye okwagala kuzimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga “tulina fenna okutegeera.” Okutegeera kuleeta okwekulumbaza, naye okwagala kuzimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ebyo ebikwata ku kulya ebiweereddwayo eri ebitali Katonda, kituufu nti “Ffenna tutegeera.” Naye okutegeera kuleeta okwekulumbaza, wabula okwagala kwe kuzimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga tulina fenna okutegeera. Okutegeera kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba.