1 Corinthians 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli singa akulaba ggwe amanyi ng'olya ebiwonge mu kiggwa kya lubaale, bw'aba ow'omutima omunafu, taguma bugumi naye n'alya ebiwongere lubaale?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ng’olya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu omunafu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi olya, omwoyo gwe bwe guba omunafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ggwe “Amanyi,” singa omuntu omunafu mu mwoyo akulaba ng'otudde mu ssabo olya, ekyo tekirimugumya okulya ebyo ebiweereddwayo eri ebitali Katonda?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuntu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi; omwoyo gw'oyo, bw'aba nga munafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi?