1 Corinthians 8:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli alowooza nti aliko ky'amanyi, aba tannamanya ng'omuntu bw'asaanye okumanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu alowooza nti amanyi, aba alaga nga bw’atannamanya era nga bwe kimugwanira okumanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, aba tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'alowooza nti alina ky'amanyi, aba tannamanya ngeri gy'asaanira kumanyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, nga tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera;