1 Corinthians 8:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno ku kulya emmere ewongeddwa balubaale: ffenna tumanyi nga lubaale mu butuufu taliiwo, era tewali Katonda mulala wabula omu ono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi nti “ng'ekifaananyi si kintu mu nsi,” era nga“ tewali Katonda mulala wabula omu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe twogera ku kulyanga ebiweebwayo eri ebyo ebitali Katonda, tumanyi nti ebyo ebitali Katonda, tebiriimu nsa. Tumanyi nti waliwo Katonda omu yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi ng'ekifaananyi si kintu mu nsi, era nga tewali Katonda omulala wabula omu.