1 Corinthians 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye ffe tumanyi Katonda omu, Taata, byonna mwe bisibuka, naffe mwe tuva, n'Omukama omu Yezu Kristu, byonna mwe byayita okubaawo, naffe mwe twayita okubaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye gyetuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye tulina Katonda omu, Kitaffe eyatonda ebintu byonna, era nga naffe tubeerawo ku bubwe. Era waliwo Mukama omu yekka Yesu Kristo, byonna mwe byatonderwa, atubeesaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe: