1 Corinthians 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ebyo si bonna nti babimanyi. Naye abamu olw'okubeera nga n'okutuusa kati beemanyiizizza balubaale, balya emmere emponge nga ddala eyawongeddwa lubaale; kubanga omutima gwabwe munafu, ne gujjako ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka kino abamu tebakimanyi. Obulamu bwabwe bwonna bwamanyiira okulowooza nti bakatonda abalala balamu ddala, era nga n’ebiweebwayo ebyo biweebwayo eri bakatonda ddala. Kaakano bwe balya emmere eyo eyonoona emyoyo gyabwe, kuba minafu, beeyonoona bokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ekiweereddwa eri ekifaananyi, kubanga omwoyo gwabwe munafu, gusigala mu kwonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka si bonna abamanyi ekyo. Naye abantu abamu baamanyiira ebitali Katonda, era n'okutuusa kaakano bwe balya emmere eyo, balowooza nti y'ebyo ebitali Katonda. Era olw'okuba ng'omwoyo gwabwe munafu, balowooza nti bakoze kibi okulya emmere eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ng'ekiweereddwa eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubeera n'empitambi.