1 Corinthians 8:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula mwekkaanye, sikulwa ng'eddembe lyammwe lifuuka ekyesittazo eri omunafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka mwegendereze bwe muba mukozesa eddembe lyabwe eryo, si kulwa nga mwesittaza abo abanafu mu kukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mwekuumenga eddembe lyammwe lireme okufuuka enkonge eri abanafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mwegendereze, eddembe lyammwe lireme okufuuka ekyesittaza abanafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mwekuumenga mpozzi obuyinza bwammwe obwo bulemenga okuba enkonge eri abanafu.