1 Corinthians 9:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Takyogerera ffe ffenna? Kyawandiikibwa ku lwaffe, kubanga oli alima, yandirimye ng'asuubira, n'oli awuula eŋŋano yandiwudde ng'asuubira okugabanako akantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba ayogera ku lwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba kino akyogera ku lwaffe abantu? Ekyo kyawandiikibwa ku lwaffe, kubanga oyo alima era n'oyo akungula, basaanira okukola omulimu gwabwe nga basuubira okufuna ku bibala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba ayogera ku lwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako.