1 Corinthians 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temumanyi ng'abakola mu Kiggwa balya ku bitonebwa mu Kiggwa, n'abaweereza ku mwaliiro eby'oku mwaliiro kwe bagabana?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu Yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temumanyi nti abo abaweereza mu Ssinzizo balya ku bya mu Ssinzizo, era nga n'abo abaweereza ku alutaari bagabana ku biweebwayo mu kifo ekyo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto?