1 Corinthians 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Omukama nno bw'atyo bwe yatereeza, nti abayigiriza Evangili, baneeyimiririzangawo ku Vangili.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuulira Enjiri baliisibwenga olw'Enjiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bw'atyo ne Mukama yalagira nti abo abategeeza abantu Amawulire Amalungi basaana okuliisibwa olw'omulimu ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuulira enjiri baliisibwenga olw'enjiri.