1 Corinthians 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze seyambisizza n'erimu ku ddembe eryo; siwandiise biryoke binkolerwe. Kiryose nfe ne wataba anzigyako ttendo lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssiwandiika bino biryoke binkolerwe, kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze ebyo sibisabye, era bwe mpandiika kino, sigamba nti binkolerwe, kubanga waakiri nfe okusinga omuntu lw'anzigyako ekyo ekinneenyumiririzisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze sibikozanga ebyo n'ekimu: so siwandiise ebyo kiryoke kinkolerwenga nze bwe kityo kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere.