1 Corinthians 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe njigiriza Evangili, ekyo ku nze si ttendo, manyanga mulimu gwange; zinsanze nze bwe siyigiriza Vangili!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe mbuulira Enjiri, ekyo tekinneenyumiririzisa, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Ziba zinsanze, bwe ssibuulira njiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntegeeza abantu Amawulire Amalungi, ekyo tekinneenyumiririzisa, kubanga nteekwa buteekwa okukikola, era ziba zinsanze bwe sitegeeza bantu Amawulire Amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.