1 Corinthians 9:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa kino nkikola nga njagala, nfuna empeera; bwe kiba tekivudde mu kwagala, guba mulimu bulimo ogwantumibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera, naye ne bwe mba nga ssikola na kwagala, nkikola lwa kubanga nnateresebwa omulimu ogwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa ekyo nkikola lwa kweyagalira, nandibadde nsaanira okuweebwa empeera. Naye nga bwe sikikola lwa kweyagalira, nkikola lwa kuba nga Katonda yankwasa omulimu ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera: naye oba nga ssikola na kwagala, nnateresebwa obuwanika.