1 Corinthians 9:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno empeera eyange y'eruwa? Ye eno, nti bwe njigiriza Evangili, njiyigiririze bwereere, ne seeyamba bye nandifunye olw'okuyigiriza Evangili.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale empeera yange y’eruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olw’omulimu ogwo nga bwe nsaanidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mpeera ki gye nnina? Empeera yange y'eno, kwe kubuulira Enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukozesa ddala obuyinza bwange mu Njiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale empeera yange y'eruwa? Empeera yange kwe kutegeeza abantu Amawulire Amalungi nga sisasulwa era nga sirina na kimu kye nsaba olw'omulimu ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mpeera ki gye nnina? Mbuulira enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukoleza ddala obuyinza bwange mu njiri.