1 Corinthians 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri Abayudaaya neefuula Muyudaaya, ndyoke mpangule Abayudaaya. Eri abatwalibwa Etteeka, neefuula atwalibwa Etteeka, sso nga sitwalibwa Tteeka, ndyoke mpangule n'abo abagoberera Etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Bayudaaya nafuuka ng'Omuyudaaya, ndyoke ndeete Abayudaaya. Mu abo abafugibwa amateeka g'Ekiyudaaya, nafuuka nga bo ndyoke mbaleete.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;