1 Corinthians 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri abali ebweru w'Etteeka, neefuula ali ebweru w'Etteeka – si ng'atalina tteeka mu maaso ga Katonda, wabula ng'atwalibwa Etteeka lya Kristu – ndyoke mpangule abo abali ebweru w'Etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu b'amawanga amalala abatalina mateeka ga Kiyudaaya, nafuuka ng'atagalina, ndyoke ndeete abo abatalina mateeka ago. Kino tekitegeeza nti sikwata mateeka ga Katonda, kubanga nfugibwa amateeka ga Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka.