1 Corinthians 9:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri abanafu, nange mba munafu, ndyoke mpangule abanafu. Nafuuka byonna olwa bonna, nsobole okubaako be ndokola mu buli ngeri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu banafu mu kukkiriza nafuuka ng'omunafu, ndyoke mbaleete. Nafuuka byonna eri bonna, ndyoke mbeeko abamu ku bo be ndokola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu.