1 Corinthians 9:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tetumanyi ng'abaddusi mu mpaka z'embiro bonna badduka, naye afuna ekirabo abeera omu? Nammwe mudduke mutyo, muwangule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temumanyi ng'abadduka mu mbiro mu mpaka nga bonna badduka, naye afuna ekirabo abeera omu? Nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuweebwa ekirabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temumanyi nti mu mbiro ez'empaka abadduka baba bangi, naye aweebwa ekirabo abeera omu? Kale muddukenga bwe mutyo, mulyoke muweebwe ekirabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temumanyi ng'abadduka mu kuwakana baddukanira ddala bonna, naye aweebwako empeera omu? Muddukenga bwe mutyo mulyoke muweebwe.