1 Corinthians 9:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yeetaba mu mpaka, yeefuga mu byonna; sso bakola batyo balyoke bafune engule eggwaawo; naye ffe, tulwanirira engule etaggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muzanyi asaayo omwoyo okwefuga mu byonna nga alubirira okufuna engule eryonooneka, naye ffe tulifuna etayonooneka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli eyeetaba mu mizannyo egy'empaka yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo, balyoke baweebwe engule eyonooneka, naye ffe tuliweebwa engule eteyonooneka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli muntu awakana yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo balyoke baweebwe engule eryonooneka, naye ffe etayonooneka.