1 Corinthians 9:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange nno sidduka muwawa, sikuba bikonde ng'omulwanyi akuba ebbanga;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo ssidduka ng'atalina kigendererwa; nnwana naye si ng'akuba ebbanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo sidduka ng'atalina kye ŋŋenderera. Nnwana naye siri ng'oyo akuba ebbanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze kyenva nziruka bwe nti, si ng'atamanyi; nnwana bwe nti si ng'akuba ebbanga: