1 Corinthians 9:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula omubiri gwange ngubonereza ne ngufuga, sikulwa nga nze mmaze okuyigiriza abalala, mpandulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga; mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbonereza omubiri gwange era ngufuga, si kulwa nga mmala okutegeeza abalala Amawulire Amalungi, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga maze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.