1 John 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obulamu obwo bwayolekebwa, ne tubulaba, era bwe tutegeeza, era tubabuulira obulamu obutaggwaawo obwalinga ne Taata, obwatwolekebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obulamu obwo bwalabisibwa, naffe ne tubulaba, era tubategeeza, era tububabuulira mmwe obulamu obwo obutaggwaawo, obwabaawo awali Kitaffe ne bulabisibwa gyetuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulamu obwo bwe bwalagibwa, twabulaba. Kale tubwogerako, ne tubategeeza mmwe eby'obulamu obwo obutaggwaawo, obwali awali Kitaffe, era obwatulagibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(n'obulamu bwalabisibwa, ne tulaba, era tutegeeza, era tububuulira mmwe obulamu obwo obutaggwaawo, obwabaawo awali Kitaffe ne bulabisibwa gye tuli);